Barbara Kaija
Barbara Kaija (yazaalibwa mu 1964) era Munnamawulire akolera mu Uganda ate ng’er munnabyanjigiriza akola nga Ssaabasunsuzi mu (Group Editor-in-Chief) mu kitongole kya Vision Group ekifulumya empapula z’amawulire omwo nga mw’otwalidde n’olupapula lw’Olungereza olufuluma buli lunaku, New Vision.[1]
Ebimukwatako n’obuyigirize
[kyusa | edit source]Yasomera mu Makerere University, era ng’eno ye Ssettendekero esinga obukulu mu Yuganda yonna. Ddiguli ye esooka yagifuna mu Busomesa (Bachelor of Arts with Education). Yeeyongera n’asoma ddiguli eyookubiri era byenjigiriza (Master of Arts in Education) era nga nayo yagifunira mu Ssettendero y’e Makerere. Oluvannyuma yagenda mu e South Afrika mu Rhodes University, mu kibuga kya Grahamstown, Eastern Cape, n’asoma ddiguli eyookubiri mu by’amawulire. Omukyala ono era alina ne Ddipuloma mu By’amawulire ( Postgraduate Diploma in Practical Journalism) gye yafunira mu Cardiff, Wales e Bungereza era ng’eno okugifuna yaweererwa ekitongole kya Thomson Foundation.[2]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Akoledde mu kitongole kya Vision Group okumala emyaka egisukka mu 25. Mu 1992, yaweebwa omulimu ng’atendekebwa okufuuka omumyuka w’omusunsuzi. Ebbanga bwe lyagenda liyitawo yagenda ayongerwako obuvunaanyizibwa era n’asuumuusibwa n’atuuka ku ddaala ly’Omumyuka w’Omusunsuzi akola ku Features (Deputy Features Editor). Oluvannyuma yafuuka Omusunsuzi omukulu (Features Editor) era n’aweerereza mu kifo ekyo okumala emyaka 10. Mu 2006 yalondebwa okumyuka Ssaabasunsuzi (Editor-in-chief) ate mu 2010 n’asuumusibwa n’atuuka ku ddaala lya Ssaabasunsuzi (Editor-in-chief). Mu kiseera kino avunaanyizibwa okulondoola omutindo bannamawulire ku bwekolera emirimu gyabwe mu mikutu egy’enjawulo (empapula, leediyo, ttivi, yintaneti wamu n’emikutu egigatta-abantu – social media) mu kitongole kya Vision Group. Bwe yaweebwa obukulu bwa Ssaabasunsuzi mu 2010 yafuuka omukyala omusaale okutwala ekifo ky’Obwassaabasunsuzi mu lupapula olunene ng’olwo mu Uganda.[3]
Ebikwata ku bulamu bwe
[kyusa | edit source]Barbara Kaija mukyala mufumbo ate nga Mukristaayo omulokole era okukkiriza kwe kwe kwe kumuyamba okutambuza obulamu bwe.
Ebirala
[kyusa | edit source]Barbara Kaija ayagala nnyo ebyamawulire ate ng’era ayagala nnyo okuyigiriza abalala. Okusinga ennyo yettanidde nnyo ekisaawe ky’obunnamawulire ekiyitibwa era ng’ayambye Bannayuganda bangi mu kukulaakulanira mu bunnamawulire ng’abalungamya mu bye bakola. Mu 2012 yaweebwa ekitiibwa kya "National Jubilee Award", olw’okusiima emirimu gye gy’akoze.[2] Ate mu Gwokusatu 2011, olupapula lw’Amawulire olwa Daily Monitor, olumu ku makampuni ga Aga Khan-agagwa mu Kitongole kya Nation Media Group, baamwogerako ng’omu ku byakyala 50 mu Yuganda enjasabiggu mu byenkulaakulana "Today’s Uganda Top Fifty Women Movers".[3]
Laba ne
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ NVG (206). "New Vision Group: Senior Management". Kampala: New Vision Group (NVG). Archived from the original on 4 Gwamwenda 2018. Retrieved 4 Gwakkuminogumu 2017.
- ↑ NVG (206). "New Vision Group: Senior Management". Kampala: New Vision Group (NVG). Archived from the original on 4 Gwamwenda 2018. Retrieved 4 Gwakkuminogumu 2017.
- ↑ Monitor Staff (8 Gwakusatu 2011). "Today's Uganda top fifty women movers". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 4 Gwakkuminogumu 2017.
External links
[kyusa | edit source]- Website of Vision Group
- Website of the New Vision Newspaper
- We need independent media regulation – Vision Group Editor-in-Chief Retrieved 6 October 2016.
Lua error: Invalid configuration file.